Amawulire

Obuganzi bwa NRM bugenda kwongera okukendeera

Obuganzi bwa NRM bugenda kwongera okukendeera

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ssentebe wa NRM mu disitulikiti ye Mukono Twahiri Ssebaggala asabye gavumenti nti ekole ku nsonga eziruma abantu.

Ayogedde ku kugobaganya abantu ku ttaka nebiralala ebiruma abantu mu Buganda, nti bikolebweko bwekitaabe ekyo ekibiina kigenda kwongera okunafuwa.

Kinajjukirwa nti NRM teyakola bulungi mu kulonda kwa bonna okuwedde.

Sound: Twahir Okulabula

Bino byabadde ku mukolo e Mukono, Nampala wa gavumenti Thomas Tayebwa kweyatongolezza ekibiina ekigenda okugatta abakadde mu Buganda ekya SMERICK Foundation.

Tayebwa asubizza nti bagenda kukola ku nsonga zonna eziruma abantu ba Buganda, okusobola okuzza obuwagizi.