Amawulire

Obuganda bukungubagidde Nnabakyala wa Bungereza

Obuganda bukungubagidde Nnabakyala wa Bungereza

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Obwa Kabaka bwa Buganda bukungubagidde abadde Nabakyaala wa Bungereza Elizabeth II, eyaseeredde akawungeezi k’olunaku lwa ggyo ku gy’obukulu 96.

Mukwogerako eri Obuganda, Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde mu Bulange e Mengo nategeeza nga Nabakyaala bweyategeera obuvunanyizibwa obugendera mu kifo ky’abaddemu era afubye nnyo obutuukiriza.

Nnabakyala Elizabeth 11 , ye mukulembeze akyasinze okulwa ku nnamulondo, aludde nga mukosefukosefu mu lubiri lwe e Buckingham okuva ku nkomerero y’omwaka oguwedde.

Okuva mu gwe 10 omwaka oguwedde, Nnabakyala Elizabeth abadde takyakkirizibwa kuba nyo mu lujjudde.