Amawulire

Obama ayagala abagaga bayambe abanaku.

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.

Abakulemebeze ba Africa, kko nebananagagga basabidwa  okufaayo kubanaku, kino kiyambe okumalawo omuwaatwa oguli wakati wabaavu nabagaga mu Africa.

Alipoota eyakolebwa aba Oxfam report omwaka gwa 2017 yalaga nti ebitundu 80 %  ku nsimbi ezaakolebwa  omwaka oguwede zaagenda mu ngalo zabanagagga abatasuka na 1%.

Bweyabadde ayogerera mukujukira obulamu bwa Nelson Mandela mu Johannesburg South Africa, eyaliko omukulembeze wa America Barack Obama yagambye nti abagaga, n’abakulembeeze bagwana okukola kyonna ekisobola okulaba nga abaavu  bayambibwa Africa bweba yakukula mungeri yakyenkanyi.

Ono agamba nti government egwana okuteekawo eby’enjigiriza ebyobwerere, okuyamba abaana abayiiya kko n’ebirara ebiyinza okuyamba abanaku okuva mu mbeera embi.