Amawulire

Nyanjula ne banne basindikibwa ku alimanda

Nyanjula ne banne basindikibwa ku alimanda

Ivan Ssenabulya

May 31st, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Amyuka Loodi Meeya wa Kampala Doreen Nyanjura nómubaka omukyala owa disitulikiti yé Soroti mu palamenti Anna Adeke, ne banabwe abalala 6 badizidwayo ku mmere e Luzira

Oludda oluwaabi lutegezeza kkooti nga bwebetaagayo akadde okwekenenya ebiwandiiko ebireetebwa ababadde bagenda okweyimirira abavunanwa.

Omulamuzi Augustine Alule, omusango agwongezaayo okutuusa nga June 7th 2022 lwebalyekenenya ebiwandiiko byabwe ebyokusaba beyilo.

Bano bavunanibwa kukuma muliro mu bantu oluvanyuma lwokukwatibwa olunaku lweggulo wali ku nkulungo ye Mulago nga beekalakaasa olwebbeeyi ye bintu eyekannamye nga bagala ne gavt okuyimbula eyaliko Senkagale wa FDC Kiiza Besigye okuva mu makage e Kasangati bamuleke yeetaaye.