Amawulire

Nyakairima asisinkanye abavuganya

Ali Mivule

April 2nd, 2014

No comments

Aronda

Kyaddaaki minister akola ku nsonga z’omunda mu gwanga GenAronda Nyakayirima akirizza okusisinkanamu ab’oludda oluvuganya gavumenti bawayeemu ku kya police okubatulugunyanga.
Ssenkagale w’ekibiina kya UPC Olara Otunnu agamba basuubira ensisinkano eno okumalawo okusika omugwa wakati wa poliisi n’aboludda oluvuganya gavumenti nadala nga bakubye enkungaana.
Ab’oludda oluvuganya gavumenti bazze bemulugunya ku basirikale ba poliisi okubakugira okukuba enkungaana zaabwe.
Mungeri yeemu ye ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura, atagezezza nga ababaka abatuula ku kakiiko k’ebyokwerinda nti zonna enkugaana poliisi zeyalinyamu eggere zaali zimenya mateeka.