Amawulire

NUP yegaanye okulumba Besigye, DP siyakwegatta ku Kisinde kya PFT

NUP yegaanye okulumba Besigye, DP siyakwegatta ku Kisinde kya PFT

Ivan Ssenabulya

October 12th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga ne Prossy Kisakye,

Ekibiina kye byóbufuzi ekya NUP kisambaze ebigambibwa nti kikubagana ne kisinde kye byobufuzi ekyatongozebwa bannabyabufuzi nga bakulembedwamu eyavuganya kuntebe eyomukulembeze weggwanga enfunda nya, Dr Kiiza Besigye.

Dr Besigye ne banne mu ssabiiti ewedde batongoza ekisinde kya People’s Front for Transition (PFT) naye wabadewo ebigambo ebiyitingana ku mikutu gya social media wakati wa NUP ne kisinde.

Wabula mu kwogerako ne bannamawulire ku yafeesi zabwe e Kamwokya, ssabawandiisi wékibiina Lewis Lubongoya agambye nti ekibiina kyonna ekivaayo ne kigendererwa ekyokugyawo gwayise nnakyemalira bakiwagira

Ono agamba nti endowooza zabwe zandikyukamu naye nga NUP ne PFT balina ekirubirirwa kyekimu.

Mungeri yemu Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party kirangiridde nga bwekitali mu kisinde kya People’s Front for Transition (PFT) ekikulemberwa Dr Kizza Besigye.

Mu kwogerako ne banamwulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, omwogezi wa DP, Okoler Opio, agambye nti nga tewanabaawo mukago gwonna aboludda oluvuganya balina okusooka okugonjoola obutakanya bwebalina.

Ono wadde ekyokulabira nti emyaka gyetoloodde nga banabwe bwebali ku ludda oluvuganya bayita aba DP nti bantu ba Museveni ekiraga nti tebasobola kutambulira wamu.

Opio agamba tebasobola kwegatta ku kisinde kino kuba tebaweereddwa budde bumala okumanya ebigendererwa byakyo ebituufu.