Amawulire

NUP eyogedde kubya Kibalama okutongoza yafeesi zékibiina endala

NUP eyogedde kubya Kibalama okutongoza yafeesi zékibiina endala

Ivan Ssenabulya

June 22nd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abavuganya gavumenti abekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddemu omwasi ku lutalo olwabaluseewo waati waabwe nekiwayi ekirala ekikulemberwa Moses Kibalama Nkonge.

Olunnaku lweggulo abakulu bano baliko wofiisi gyebaguddewoe Rubaga nebakakasa nti wewagenda okutuula ekibiina ekituufu, era ekyawandisiddwa.

Bagamba nti baliko byebaali bakanyako bwebaali bawa Robert Kyagulanyi obukulembeze, naye byatatukiriza.

Kati omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi agambye nti abakulu bano bakozesebwa okwagalaokujja egwanga ku mulamwa, wabula abalabudde nti bakomye ebikolwa byabwe kubanga bajja kubakomako okuyita mu mateeka.

Paul Ssimbwa agamba nti ye Ssabawandiisi wa NUP mu kiwayi kya Kibalama basazeewo bajulule wofiisi zaabwe okuva e Kamwokya, okudda e Rubaga byonna Senyonyi byawakanyizza.