Amawulire

NUP ewanguddwa obwa kansala e Mityana

Ivan Ssenabulya

December 17th, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Abekibiina kya NRM mu tawuni kanso ye Zigoti e Mityana bawakanyiza obuwanguzi bwa NUP ku kiffo kya Kansala omukyala.

Okulonda kweno kwayimirizibwa oluvanyuma lw’obubonero bwabaali besimbyewo okutabulwa.

Ku bifo okwabadde Zigoti ward 2 owa Nup Babiry Volonica yawangudde n’obululu 270 ate owa NRM Aish Namatovu afunye 105, ate ku kifo kya kansala owa Zigoti ward 3 Nabawanuka Christine yawangudde nobululu 160 ate Busingye Magret owa NRM nafuna 159.

Sentebe wa District Mugish Patrick, Wotonava Fred meya wa central Division ne Buule Muhammadi meeya wa Zigoti Town council baliko byebaogedde.