Amawulire

NSSF eyongeza ku magoba geewa ba memba.

NSSF eyongeza ku magoba geewa ba memba.

Ivan Ssenabulya

August 28th, 2018

No comments

By Ndaye Moses.

Ekitavu kyabakozi ekya NSSF, kitegeezeza nga bwekigenda okwongera amagoba ga bitundu 15% eri ba member bonna abatereka mu kitavu kino.

Bwabadde ayogerera ku tabamiruka waba member bonna, nakaakano akyayagenda mu maaso , minister omubeezi akola ku byensimbi  Gabriel Ajedra agambye nti ensimbi ezikola obukadde 11,000 zezigenda okusasula ba member bonna mu gwanga kakano abaweze obukadde 2.

Ono agambye nti gun gwemulund ogusookede dala ekitavvu kino okuwaayo amagoba amangi bwegatyo eri ba member.

Mu mwaka oguwedde ba member baawebwa amagoba ga bitundu 11.23%.

Mukseeera kano ekitavu kiwezezza obuwumbi 10.