Amawulire

NSSF eyongedde kunyingiza yaayo ne bitundu 25%

NSSF eyongedde kunyingiza yaayo ne bitundu 25%

Ivan Ssenabulya

September 23rd, 2021

No comments

Bya Moses Ndaye,

Ekitongole ekitereka ekitavu kya bakozi ekya National Social Security Fund kitegezeza nga enyingiza yabwe mu mwaka gwe byensimbi 2020/21 bweyeyongera ne bitundu 25%,okuva ku kasse kamu nobuwumbi 400newankubadde eggwanga liyita mu kusomozebwa kwe kirwadde kya  COVID-19.

Bwabadde ayanja enkola yekitongole kino eyomwaka guno, akulira ekitongole kino Richard Byarugaba, agambye nti enyingiza esobodde okulinya olwemisingo gye bafunye ebintu ebikalu ebitundibwa, namagoba okweyongera.

Ebintu ebikalu nabyo byeyongedde ne bitundu 17% okuva ku Shs13.3 trillion okudda Shs15.5 trillion wetwatukira nga June 30th, 2021.

Byarugaba agambye nti nga amateeka bwegalambikiddwa gye bujja minisita we byensimbi, Matia Kasaija wakulangirira amagoba gomwaka guno munsimbi za bateresi mu lukungana olunaberawo nga 29th September 2021.