Amawulire
NRM yakusemba omuntu omu ku bwa sipiika bwa palamenti
Bya Damali Mukhaye,
Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa agambye nti akakiiko akafuzi akekibiina ekiri mu byinza aka central Executive Committee (CEC) kakutuula balonde omuntu agenda okuvuganya kuntebbe yobwa sipiika bwa palamenti
Mu kwogerako ne bannamawulire ku palamenti, Nakabirwa, agambye nti ababaka bonna abali ku kaada ya NRM abegwanyiza ekifo kino bazooka kuyita mu kakunnunta ka CEC mwebalonda owenkomeredde
Ono agamba nti singa banalemererwa okukanya ekibiina kyakuwereza palamenti ennya lya omuntu wabwe gwe bagala okutwala ekifo kya sipiika kati abanajeema ne basalawo okuvuganya bakukikola kulwabwe.
Nankabirwa agamba nti singa na bali ku ludda oluvuganya bakola kye kimu ne bavaayo nomuntu kyakwanguya omulimo.
BannaNRM 2 okuli sipiika aliko Rebecca Kadaga nomumyukawe Jacob Olanya balaga dda obwagazi okudamu okuvuganya kuntebbe yobwa sipiika ate ku ludda oluvuganya omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda Entebbe naye agwetaaga.