Amawulire

NRM elabudde okukangavula bamemba abawakanyiza okusalawo kwékibiina e Serere

NRM elabudde okukangavula bamemba abawakanyiza okusalawo kwékibiina e Serere

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ekibiina kya NRM ekiri mu buyinza kiweze okukangavvula abamu ku bammemba baakyo mu disitulikiti y’e Serere abaawakanya omuntu ekibina gwe kyasimbawo ne baleeta omulala mu kudamu okulonda okugenda mu maaso.

Abamu ku bakulembeze b’ekibiina bagaana Phillip Oucor okukwata bendera y’ekibiina kya NRM nga bagala Emmanuel Omoding Okabe yabadda mu kifo kya kitaawe omugenzi Patrick Okabe.

Okabe eyali omubaka wa Palamenti mu ssaza ly’e Serere yafiira mu kabenje k’emmotoka mu December w’omwaka oguwedde ekyafuula ekifo kino nga kikalu.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire okuva e Serere, Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM Dr Tanga Odoi akkaatirizza nti Omoding wadde nga munnakibiina kya NRM eyesibyewo ku bwannamunigina teyewandiisangako nga mmemba waabwe.

Byte: Odoi crack whip

Odoi azze essuubi nti NRM yakuwuuta buva akalulu kano. Okulonda kwa kufundikirwa ssaawa kumi nemu.