Amawulire

NRM egula abalonzi e Luweero- DP

Ali Mivule

May 2nd, 2014

No comments

Nabukenya 2

Ekibiina kya DP kikiise ensingo era kyagala akakiiko k’ebyokulonda kanonyereze ku bigambibwa nti ekibiina kya NRM kiri mu kumansa musimbi mu balonzi e  Luwero nga betegekera okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district eno.

Muinna DP nga yesimbyewo ku kifo kino  Brenda Nabukenya agamba nti omukulembeze w’eggwanga bweyakyaddeko mu district eno yagabidde abantu ssente ekikontana n’amateeka g’ebyokulonda.

Agamba nti akakiiko k’ebyokulonda kaawera eby’okusonda ensimbi saako n’okugabira abalonzi ssente nga ate kyekyakoleddwa omukulembeze w’eggwanga.

Ekifo ky’omubaka omukyala kyasigala kikalu oluvanyuma lwakooti okufumula Brenda Nabukenya okuva mu palamenti olw’emivuyo egyali mu kulondebwa kwe.