Amawulire

NRM bakuteesa ku enongosereza mu ssemateeka w’eggwanga

NRM bakuteesa ku enongosereza mu ssemateeka w’eggwanga

Bernard Kateregga

August 31st, 2015

No comments

File Photo: A member ba NRM

File Photo: A member ba NRM

Olukiiko lw’ekibiiba kya NRM olwokuntikko lusubirwa okutuula olunaku olwaleero okuteesa ku nsonga ez’enjawulo okuli enongosereza mu ssemateeka w’eggwanga n’amateeka g’ebyokulonda ebyakayisibwa naye nga omukulembeze w’eggwanga tanabitekako Mukono.

Ssabawandiisi w’ekibiina l Justine Kasule Lumumba ategezezza nga bwebagenda okutunula mu kawayiro akawa abataliba kibiina eddembe okusala okudda mu kibiina kyonna mu mwezi 12 nga okulonda tekunatuuka.

Lumumba era ategezezza nga bamemeba bwebagenda okuteesa ne mu ky’amasaza amapya agakatondebwawo oluvanyuma lwa minisitule y’ebyensimbi okutegeeza nga bwegagenda okukandula eggwanga mu by’ensimbi.