Amawulire

Nnabagereka akubiriza abakyala okwekuuma nga balamu bulungi

Nnabagereka akubiriza abakyala okwekuuma nga balamu bulungi

Ivan Ssenabulya

May 13th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Maama wa Buganda Nnabagereka Sylvia Nnaginda akubiriza abakyala okwekuuma nga balamu bungi eggwanga lisobole okutuuka kunkulakulana.

Bino abyogedde aggulawo tabamiruka wa bakyala mu lubiri lwa ssabasajja e Mengo.

Olukungana lutambulidde wansi wómulamwa ogugamba nti omukyala omulamu gwemusingi gwe byenkulakulana.

Nnabagereka asabye abakyala okulya obulungi nókukola dduyiro emibiri gyabwe gisobole okuba emiramu obulungi.

Era ajjuziza abakyala obuvunanyizibwa bwabwe mu kukuza abaana obulungi nga bampisa ate abawombefu ku lwe biseera byabwe ebyómumaaso ebirungi.

Mungeri yemu Nnaginda asabye abazadde obutalekerera baana babwe abóbuwala abafunira embuto mu biseera byómuggalo.