Amawulire

Nambooze yemulugunya ku bukambwe bwa kooti

Ivan Ssenabulya

April 20th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ssabalamuzi we gwanga Bart Katurebe asabye gavumenti okusisa mu nkola, ekiragiro kya palamenti mu mwaka gwa 2009 okwongera ku balamuzi ba kooti enkulu okutuuka ku balamuzi 82.

Katurebe wabula era anenyezza palamenti olwobutalondoola bulungi emirimu gye ssiga eddamu, ngategezeza nti nababaka tebafangayo okumanya kino wa wekyakoma.

Ssabalamuzi Bart Katureebe abadde Mukono mu kuggulawo olutuula lwa kooti enkulu olwenjawulo.

Ku mukolo guno ababaka, owa munispaali eye Mukono Betty Nambooze nowa Mukono North Ronald Kibuule basabye wabengawo okwanguya emisango.

Nambooze era asabye Ssabalamuzi, kooti zitekewo embeera yomukwano mu kuwuliriza emisango bakomye okukanganga abajulizi nabateberezebwa okuzza emisango.

Kinajjukirwa nti omubaka Nambooze yoomu ku bajulizi abalabikako mu kooti ya ssemateeka, etuula e Mbale.

 

President owekibiina kyabanamateeka mu gwanga ekya Uganda Law Society Simon Peter Kinoobe asabye abalamuzi, bakomye okwongezangayo emisango oluusi ekibeera kitetagisa.

Kinoobe agambye nti kino kiremesa abantu okufuna obwenaknya.

Ategezeza nti abantu bangi bakoseddwa mu mbeera eno.

Ono mungeri yeemu asabye, abantu okwewala ate nokubalopera banamateeka abafere.