Amawulire

Njegula ye Taata wa Bitama

Ali Mivule

January 18th, 2014

No comments

Bitama casket

Kikakasiddwa nti Peter Njegula ye taata wa Paddy Bitama.

Ebifulumizza okuva mu musaayi biraga omusaayi gwa Njegula gukwatagana n’ogwa Bitama.

Abakozi okwekeneenya omulambo gwa Bitama nga bakulembeddwaamu Moses Byaruhanga Baganda ba Bitama nabo beeyamye okubakeberera obwereere.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Ibin Ssekumbi agamba nti baatuzizza enjuuyi zombi era bonna nebakkiriziganyizza.

Ono agamba nti wabula abasirikale baabwe bakusigalawo okulaba nti tewabaawo kavuyo konna mu kuziika.

Bbo baganda ba Bitama okuva ewa Tamale eyamukuza nabo babawadde akakisa okwekebeza omusaayi okukakasa oba nabo ssibamu luggya olwo.

Omulambo gwa Paddy Bitama gumaze okujjibwa e Mulago nga gutwaliddwa Magere gy’agenda okuziikibwa

Bitama yafa ku lunaku lw’omukaaga olwa ssabiiti ewedde oluvanyuma lw’okumala akabanga ng’atawanyizibwa obulwadde bwa kokoolo.