Amawulire

NEMA yakuteeka ebipipa omuteekebwa Kasasiro kunguudo ennene

NEMA yakuteeka ebipipa omuteekebwa Kasasiro kunguudo ennene

Ivan Ssenabulya

April 4th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu, 

Ekitongole kya Gavumenti ekivunanyizibw ku butnode ekya NEMA, kitegeezezza nga bwekigenda okukolaganira awamu n’ebbuga ebinene wonna mu gwanga okuteeka ebipipa ebikunayizibwamu kasasi ku nguudo ennene abantu mwebasobola okusuula kasasiro okusinga okumala gamumansa.

Ono y’omu ku kawefube eyatandikiddwako mu lutalo lw’okumalawo obukyafu mu bibuga nga Kampala yakulembeddemu okiwenda kino, nga nasangibwa ng’amala gasuula kasasira awatasaanira, ebibonerezo biyebigenda okulamula.

Ku ntandika y’omweezi guno, NEMA yayongezzaayo nsale sale w’okutandika okukwasisa etteeka eri abantu abamala gamansa kasasiro ennaku endala 30 bamale okusooka okusomesa abo bekikwatako.

Mu teeka lino, motoka zona ezalukale kyakuzikakatako okubeera n’ekifo abasaabala webakunganyiza kasasira okumala abo ababadde n’omuze ogumuyisa mu madirisa nebamala gamusuula buli webasanze.

Kati akulira NEMA Dr. Akankwasah Barirega agamba nti n’amasundiro g’amafuta gakutekebwako ebipiba nga motoka ezikyamyewo okunywawo amafuta zisobolera ddala bulungi okutikkulirawo kasasiro gwezibeera zitambudde naye okusobola okutumbula obuyonjo.