Amawulire

NEMA erangiridde ebikwekweto ku basima omusenyu

NEMA erangiridde ebikwekweto ku basima omusenyu

Ivan Ssenabulya

October 1st, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekitongole ekivunayizibwa ku kukuuma obutonde bwensi mu gwanga, National Environment Management Authority (NEMA) balangiridde nti batandise ebikwekweto ku banatu abayikuula entobazi nga basima omudenyu, mu masekati ga Uganda.

Bagambye nti ebikwekweto bino bigenda kubeera mu disitulikiti okuli Mpigi, Gomba, Butambala ne Kasanje mu Wakiso.

Ekitongole kitegezezza nga bwebakwakwata abantu 2, era baakuyambako mu kunonyereza ku basima omusenyu mu bumenyi bwamateeka.

Ebirala, baaboye mmotoka 3 okuva e Kasanje nabakwata nekimotoka wetiiye 1 okuva mu Lwera ne Nabyewanga.

Abakwate kati baakumibwa ku poliisi ye Nabyewanga, ngokunonyereza bwekugend mu maaso

Waliwo nebimotoka bi wetiiye ebirala, ebyalakeddwawo ttayo ababadde babikozesa okusima omusenyu bweadduse.