Amawulire

Neema egobaganye nabasenza mukibira kye Zirimiti

Neema egobaganye nabasenza mukibira kye Zirimiti

rmuyimba

June 19th, 2015

No comments

Ab’ekitongole ky;ebibira mu ggwanga balambudde ekibira kya Zirimiti mu gombolola ye Mpatta ne Ntenjeru nebagobagana nabasangiddwa nga batema emitti okusala embaawo.

Bano ababadde bakulembeddwamu Ssenkulu w’ekitongole kino mu gwanga Leo Twinomuhangi saako nakulira abakuuma ekibira kino.

Eno batayizza ababadde basala emiti nga basomba nembaawo emisana ttuku nebabuna emiwabo mu kibira.

Omuntu omu yakwatiddwa nebamutwala ku poliisi ye Ntenjeru gyagenda okugulwako emisango.

Omukwate Dennis Ssenkabirwa yabadde avuga emmotoka eyekika kya Elf ebadde esomba embaawo mu kibira kya gavumenti nga nemmotoka eboyeddwa.

Twinomuhangi Leo akulira ekitongole kino annenyezza ababadde bakuuma ekibira kino, kuba nabo balinga abalagajjalidde omulimu gwabwe ekibira nekituuka okusalibwamu emitti ekisubirwa nti balina kyebamanyi.

File Photo:Aba Neema nga balambula e kibira

File Photo:Aba Neema nga balambula e kibira