Amawulire

NDA eggadde amadduka agatunda eddagala mu bukyamu mu Busoga

NDA eggadde amadduka agatunda eddagala mu bukyamu mu Busoga

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority [NDA] kiggadde ebifo ebitundibwamu eddagala 166 olw’okukolera mu bukyamu.

Akulira ekitongole ekikwasisa amateeka mu kibiina kya NDA Samuel Kyomukama agamba nti ebifo ebitundibwamu eddagala ebikoseddwa bikola nga tebirina bisaanyizo na layisinsi

Agambye nti amadduka gano gaggaddwa oluvannyuma lw’ekikwekweto ekimaze ennaku ttaano ekyassibwa mu disitulikiti omukaaga ezikola ekitundu kya busoga.

Ono agamba nti baboye ne bbokisi zéddaggala ezisoba mu 200 ezibalirirwamu obukadde 80 okuva mu bifo ebyenjawulo.