Amawulire

Nayebare akakasiddwa Kkooti ng’omubaka omukyala owa Gomba omulonde

Nayebare akakasiddwa Kkooti ng’omubaka omukyala owa Gomba omulonde

Ivan Ssenabulya

April 4th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mpigi Alex Ajjiji alangiridde Sylvia Nayebare owa NRM nga omubaka omukyala eyalondebwa mu ngeri entuufu mu disitulikiti y’e Gomba.

Kino kiddiridde Kkooti okugoba empaaba ya Betty Ssentamu owa NUP ng’agamba nti yalemererwa okukakasa ebigambibwa nti yagulirira abalonzi, ekimenya amateeka.

Ssentamu alagiddwa okusasula ekitundu ku nsaasaanya yensimbi omubaka Sylvia Nayebare zatadde mu musango guno.

Nga August 30th 2021, Omulamuzi Wejuli Nabwire yali agobye Okusaba kwa Ssentamu n’awagira obuwanguzi bwa Sylvia Nayebare ng’asinziira ku kuwakanya okwasooka okwaleetebwa akakiiko ke byokulonda nti empaaba eno teyali mu butuufu.

Wabula olw’obutamatira, Ssentamu yawakanya ensala eyogeddwako n’awaayo okujulira kwe mu kkooti ejulirwamu.

Nga April 25th 2022 , kkooti ejulirwamu yayimiriza ensala ya kkooti enkulu e Mpigi eyali egobye omusango guno era n’ezzaayo okusaba kuno mu kkooti enkulu okuddamu okuwozesebwa mu maaso g’omulamuzi omulala.

Nayebare yawangula ekifo kino ku bululu 30,253 ate Betty Ssentamu n’afuna obululu 22,657.