Amawulire

Nannyina mayumba ariyilidde omupangisa

Nannyina mayumba ariyilidde omupangisa

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2023

No comments

Bya Abubakar Kirunda. Nannyini mayumba agapangisibwa mu district y’e Kaliro aweseddwa engassi ya kakadde kalamba n’emitwalo 20 lwakuddira mpitambi nagimansa mu nyumba  y’omupangisa we.

Ono amulanze butamusasula sente zamubanja ez’obupangisa emyeezi egiwezeeko.

Wilson Namusosa 38, mutuuze wa kukyaalo Nzirakaindini mu gombolola ly’e Nansololo, yasingisiddwa omusango mu kooti ya kisekwa ebadde ekubirizibwa sentebe Grace Basembeza.

Basembeza ategeezezza nga nnyini mayumba bweyalunze empita mbi mu mazzi n’oluvanyuma najiyiwa munda mu nyumba uy’omupangisa we nga amulanga butamusasula sente za bupangisa emyeezi egiwezeeko.

Omusasi waffe Abubakar Kirunda okuva e Jinja atubuulidde nti, bino byonna okubeerawo, omupangisa yasoose kwekubira ndulu eri sentebe w’ekyaalo.

Mu lutuula lwa Kooti y’ekyalo, wano wekisaliddwawo nti nyini mayumba awesebwe engassi eya akakadde akalamba n’emitwalo 20 ziyambeko ate omupangisa okugula ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo okuli n’obuliri, ebitulwako wamu n’ebikozesebwa mu kufumba nga byonna byamansiddwkoa empita mbi.