Amawulire

Nankabirwa aziikibwa lwakusatu- ssente ezasolozeddwa za kokoolo

Ali Mivule

April 13th, 2015

No comments

Nankabirwa rose

Ab’enganda z’omugenzi Rose Nankabirwa bagamba nti yadde omuntu waabwe teyalamye naye obwagaazi abantu bwebamulaze bwongedde okubagumya

Bano basiimye abo bonna abawaddeyo okutaasa obulamu bw’omuntu waabwe mu kaseera k’okugezesebwa kebalimu

Ab’enganda nga bakulembeddwaamu Ronald Bisereko agamba nti basanyufu nti bagezezzaako buli kimu kyokka ng mukama yageze .

Yye muganda w’omugenzi Catherine Naiga Turyagenda omugenzi amwogeddeko ng’omweruufu era abadde akola byonna n’obwagaazi.

Bino babyogeredde mu Lukiiko lwa bannamawulire ng’atwala ensonga z’abakozi ba NTV Solomon Muhiirwa yye agambye nti ku nsimbi obukadde 110 ezakunganyiziddwa, obukadde 60 zakuweebwa ab’oluganda okukola ku by’okuziika ate 50 bakugassa mu nsawo y’okulwanyisa obulwadde bwa kokoolo mu ggwanga

Bbo bannamawulire bakyagenda mu maaso n’okukungubagira omugenzi naddala abaali bakozeeko naye

Nankabirwa yafiiridde mu ddwaliro lya Aghkan e Nairobi Kenya gyeyaddusibwa ng’embeera etabuse oluvanyuma lw’okumala akabanga ng’atawanyizibwa ekirwadde kya kokoolo

Omulambo gwe gusuubirwa mu ggwanga akawungeezi ka leero olwo olumbe lukumwe mu maka ga kitaawe e Kanyanya

Olunaku lw’enkya , wajja kubaawo okusabira omugenzi ku Eklezia yya Yesu ye Kabaka olunaku lw’enkya ku ssaawa ssatu ate olwo ku lw’okusatu aziikibwe e Kinoni Masaka