Amawulire

Namwandu wa Ssabalabirizi Janan Luwum afudde

Namwandu wa Ssabalabirizi Janan Luwum afudde

Ivan Ssenabulya

August 7th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe

kanisa ya Uganda ekungubagidde okufa kwa Mama Mary Luwum, namwandu weyali ssabalabirizi we kanisa ya Uganda Janani Luwum.

Mama Mary Luwum yafiridde ku ddwaliro lya International Hospital Kampala olunnaku lwe ggulo ekirwadde kya kokolo.

Kati mu bubaka bwafulumizza, ssabalabirizi we kaniya Uganda kitaffe mu Katonda Stanley Ntagali ayogedde ku mugenzi ngabadde omujulirwa wa kristu owamazima nga bbaawe bweyali.

Ategezezza nti oluvanyuma lwokutibwa kwa baabwe olwa Katonda, emyaka 42 ejiyoiseewo asigadde awereza Katonda nokubunyisa engiri.

Mama Luwum yafiridde ku myaka 93 ngalese abaana 6 nabazzukulu.

Kinajjukirwa mu mwaka gwa 2015 omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni, ylangirira olwanga 16th February ngolunnaku olukulu okujjukiranga ssabalabirizi Janani Luwum.