Amawulire

Namungi womuntu yetabye mu kusabira omugenzi Nkoyoyo

Ivan Ssenabulya

January 8th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Olwaleero nasisisi womuntu yeyiye ku lutikko e Mukono mu kusabira omwoyo gwomugenzi, eyali Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda Dr. Livingstone Mpalanyi.

Omugenzi Nkoyoyo asimiddwa nokumwogerako amakula olwemirimu gyokusumba ekkanisa,.

Okusaba kubadde ku St. Philips and Andrews Cathedral e Mukono.

Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda Stanley Ntagali has akungubagidde, omugenzi.

Kitaffe mu Katonda mu bubaka bwe, ategezeza nti omugenzi abaddengawo okubalungamya waddenga yali yawummula, nga polojekiti nnyingi zakulembeddemu nezituuka ku buwanguzi kulwe kanisa.

Ate omubaka wa minsipaali eye Mukono, Betty Nambooze ayogedde ku mugenzi ngeyakola ennyo okutandikawo polojekiti ezenjawulo okutumbula embeera zabantu.

Ono era asiimye omugenzi olwokuwereza ate nasalwo okuwmmuma nalungamya abasigadde.

Ababalala abogedde ku mugenzi ye, Ssekiboobo omumwami we ssaza lya Ssabasajja owe Kyaggwe, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo.

Okusaba kuno kwetabaiddwako abakungu abenjawulo okubadde ababaka ba palamenti, abakungu mu Buganda ne kanisa ya ganda nga minister webyenguudo Gen Katumba Wamala, yakiridde gavumenti.

Abalalala abetabye mu kusaba kuno kubaddeko, akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Winnie Kiiza, eyali omubakaba mu EALA Mike Ssebalu nabalala.

Omulambo akawungeezi kano gwatwaliddwa mu maka ge e Nakabago awakumiddwa olumbe.