Amawulire
Namungi w’omuntu akungubaze- kawefube w’okumaliriza enyumba ya AK atandise
Namungi w’omuntu akyagumbye e Seguku okukungubagira abadde omuyimbi Salongo Emmanuel Mayanja amanyiddwa nga AK47.
Okusaba okukulembeddwamu Father John Vianne Mugabo asabye abavubuka mu ggwanga okutya mukama wamu n’okukola enyo.
Yye mukulu w’omugenzi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Chameleon akubagizza abakungubazi n’asaba Baganda be okwagalana.
Ku lwabakozi banne okuva mu kibiina Team No Sleep, Pius Mayanja amanyiddwa nga Pallaso omugenzi amwogeddeko ng’omuntu omugumikiriza
Yye ssabategesi w’ebivvulu Balaamu ataddewo ensawo ey’okusonderwamu ssente okumaliriza enyumba yomugenzi.
Yye Namwandu Nalongo Margret Mayanja asuubizza okusigaza salongo we kumutiima .
Olunaku lw’enkya omugenzi wakutwalibwa ku kyalo Busaato e Kalangaalo mu disitulikiti ye Mityana gy’agenda okuziikibwa.
AK47 y’afudde mu kiro ku mande oluvanyuma lw’okugwa mu kinaabiro ky’ebbaala ya Dejavu e Kansanga.
Ono w’afiridde ng’aweza egy’obukulu 25,ssonga mukama abadde yamuwa n’ezzadde ly’abalongo.
Omwoyo gw’omugenzi mukama agulamuze kisa.