Amawulire

Namukadde bamusibye lwakusobya ku mwana

Ali Mivule

July 6th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi ye Mukonon eriko namukadde owemyaka 69 gwegalidde nga kigambibwa yakakana ku muwala atannetuuka namukabasanya namutikka n’olubuto.

Omukwate mutuuze ku kyalo Namuloge mu ggombolola ye Nama mu district ye Mukono ng’omuwala gweyakabasanya abadde assoma kibiina kya 5 ku Wabunuunu P/S e Nama.

Okusinziira ku Maama w’omwana ono, Namwandu Nantume Sawuyah, omukadde ono yawola Taata w’omwana ono ensimbi emitwalo 50 bweyali tannaba kufa mu mwaka gwa 2008, wabula bwezamulema okusasula kwekumusuubiza muwala we.

Kigambibwa omukadde zino zensonga kwabadde yesigama nakabasanya omuwala ono ataweza myaka 18, nga kati ali lubuto lwa myezi 8.

Akulira ba mbega ba poliisi e Mukono Ibrahim Batasi agambye nti bagenda kwongera okunonyereza ku nsonga zino.