Amawulire

Nambooze bamulongosezza e India

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omubaka owa amunispaali ye Mukono Betty Nambooze azeemu nalongosebwa enkizi akawungeezi akayise omulimu ogututte essaawa ezekutte ku ddwaliro lya Manipal Spine care center mu India.

Kino kikoleddwa abasawo nga bateeka ekyuma amunda mu mubiri, nga nebakolera ku camera.

Omuyambi wa lord mayor wa Kampala, Elvis Kintu atubuliidde nti abasawo basazeewo bwebati okwewala okukosa ekiwundu kyebasooka okumusala.

Kintu wabula agambye nti omubaka Nambooze akyalinamu okulumizibwa.

Kinajjukirwa omubaka nga 4 July yasitula okwolera Buyindi, okugenda aokuddamu okumujanjaba oluvanyuma lwokuddamu okulwala ngali mu mikono gya poliisi.

Lord mayor Erias Lukwago ye munamateeka womubaka.

Nambooze yakwatibwa ngavunanibwa okukuma omuliro mu bantu ebyekuusa ku kutibwa kwomubaka Ibrahim Abiriga.