Amawulire

Nambooze ayagala gavumenti ewe ababntu amayumba

Nambooze ayagala gavumenti ewe ababntu amayumba

Ivan Ssenabulya

February 4th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Gavumenti esabiddwa okutwala obuvunanyizbwa okuwa abantu amayumba, agasoboka eri bonna.

Okusaba kuno kukoleddwa omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze oluvanyuma lwa palamenti okuyisa ebbago lyobupangisa erya Landlord and Tenant Bill, 2021.

Lino lyajiddemu bingi ebyawukana ku bbago eryali lyayisibwa palamenti eyomulundi ogwe 10.

Ssinga omuntu alemererwa okusasaula nnayini nnyumba yawereddwa obuyinza, okuyingira mu nnyumba nabowa ebintu byomupangisa, oluvanyuma lwennaku 30 nebirala.

Nambooze agambye nti omuntu okubeera newasula oba awaka ddembe lyabwebange, gavumenti kyetekeddwa okuberamu n’omukono.

Sound: Nambooze on housing Lug

Ababaka era baayisizza akawayiro ngokwongeza ebisale, kirina okukolebwa ngosoose kumanyisa mupangisa mu nnaku 60.

Okwongeza ebisale tekutekeddwa kusukka 10%.

Mu birala, ssente zitekeddwa kusasaulwa mu silingi, okujjako wajja kuberangawo okukaanya wakati womupangisa ne nnanyini nnyumba, ku nasasula ya eri abagala okusasaula mu  nsimbi engwira eya $.

Mungeri yeemu, akulira ekitongole kya Uganda Consumers’ Protection Association (UCPA), nga ye Sam Watasa aynirizza ekyakoleddwa palamenti okuyisa ebbago lyobupangisa erya Landlord and Tenant Bill, 2021.

Wabula Watasa asabye nti obuwayiro obumu bukyusibwe, okugeza akawa nanyini nnyumba obuyinza okuyingira mu nyumba okubowa ebintu byomupangisa.

Ayagala nti era obuyinza butekebwe mu ndagaano ekolebwa wkatai wa nnanyini nnyumba nomupangisa, ku kiki ekiyinza okukolebwa ssinga abaeera alemereddwa oba ngagimenye.