Amawulire

Nambooze awawabidde gavumenti

Nambooze awawabidde gavumenti

Ivan Ssenabulya

August 29th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze awawabidde gavumenti, okuyita mu ssabawolereza waayo, mu kooti enkulu olw’okumulemaza palamenti bweyali eysa enongosereza za ssemateeka ezajja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.

Nambooze agamba nti baamukuba ngekyoku ttale, nga 27 mu Sebutema wa 2017, abakuuma ddembe bwebmuwalawala nebmukasuka ku kabangali nebamutwala nebamuggalira ku kitebbe kya SIU e Kireka.

Agamba nti bweyali eyobulamu bwe bwayongera okwononeka nebamuddusaako mu ddwaliro lya Bugolobi medical hospital, ate nebamuzza e Mulago gyebamujja abamusindika mu gwanga lya Byindi okumulongoosa.

Kati agamba nti yakutuka enkizi era yafuna obulemu obwoluberera, atambulira nemu kagaali oluusi ku miggo.

Ono mu mpaaba ye era atagezezza nga buli luvanyuma lwe bbanga eggere, bwaddayo e Buyindi nebamwekebejja.

Kati kooti tenalaga ddi omusango guno lwegunatandika.