Amawulire

Nakadama alabudde abakulembeze

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omumyuka wa Ssabaminisita wegwanga, owokusatu Hajjat Lukia Nakaddama ajjukizza bannaYuganda okuddamu okwambala mask ngenkola esokera ddala okwetangira ssenyiga omukambwe.

Ono okuwa obubaka buno yasinizdide ku Dduwa ya maama wa munna NRM e Mukono Hajji Haluna Ssemakula ku kyalo Mpatta.

Nakaddama asabye abakulira amsinzizo abakulembeze abalala, okuddamu okubunyisa engiri mu bantu eyokwetangira obulwadde.

Eddwa eno era yetabidwako omumyuka wa Mufutti wa Uganda asooka Sheikh Abdallah Ssemambo, ngono yasabye abasiraamu mu gwanga okwegatta bakolere wamu.