Amawulire

Nabbanja yeyamye okulwanguzi mu kisanja kye

Nabbanja yeyamye okulwanguzi mu kisanja kye

Ivan Ssenabulya

June 11th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssabaminisita Robinnah Nabbanja, yeyamye okulwanyisa obulyake nga ye yambisa ekifo kye.

Bino abyogedde ayogera ku pulogulamu ye Ebigambo Tebitta ku NTV mu kujjukira nga bwawezeza omwaka mulamba nga awereza nga ssabaminisita.

Nabbanja agambye nti Uganda yali badde wala singa abakulembeze beewaayo ne bamalirira okulwanyisa obuli bwenguzi obulemeseza eggwanga okugenda mu maaso mu byenkulakulana.

Ono agambye nti omwaka gwa maze mu yaffeesi gubaddemu ebisomooza naddala okulwanyisa obulyake mu bitongole bya gavumenti.

Ssabaminisita okwogera bino nga ne alipoota eyakaliisoliiso wa gavumenti yalaga nti Uganda efiirwa obusse 20 obwensimbi za Uganda okuyita mu kulya enguzi buli mwaka.