Amawulire

Nabbanja asabye bannauganda okuwagira pulogulamu ya PDM

Nabbanja asabye bannauganda okuwagira pulogulamu ya PDM

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ssabaminisita Robinah Nabbanja asabye bannauganda okuwagira gavumenti mu pulogulamu yaayo eya Parish Development Model.

Bino abyogedde atongoza alipoota ku bitukidwako mu kutukkiriza ebirubirirwa bya gavt ebyenkulakulana.

Ono agambye nti pulogulamu eno ekwatagana bulungi ne birubirirwa bya gavt kuba egenderedde okuyamba abantu okwongera ku byenfuna byabwe.

Mungeri yemu Nabbanja minisita omubeezi owa guno na guli mu yafeesi ya ssabaminisita, Justine Kasule Lumumba bwabadde ayanja ebitukidwako mu birubirirwa bya gavt e 17 agambye nti mu byonna gavt ekoze bulungi okuva lwe lwebyagunjibwawo mu mwaka gwa 2016 nga birina kutambula mpaka 2030.

Alipoota eraze nti obwavu bukendedde mu bantu okuva ku bitundu 21.4% 2016 – 20.3% 2020.