Amawulire

Nabakooba ayagala obukiiko bwettaka bujibwewo

Nabakooba ayagala obukiiko bwettaka bujibwewo

Ivan Ssenabulya

September 23rd, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Minisita w’eby’ettaka, amayumba n’okukulakulanya ebibuga Judith Nabakooba ategezezza nga bwagenda okuwandiikira omukulembeze w’eggwanga akkirize bagyewo obukiiko bw’ettaka kuzi disitulikiti.

Agamba nti kizuuliddwa obukiiko buno bwebusinze okuvaako emivuyo gy’ettaka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo

Nabakooba agambye nti obuzibu okusinga bulabikidde mu kibuga Kampala, ngababutulaako kyebagala kyebakola olwebignederwa byabwe, ekivuddeko okusindikiriza abantu okuva ku ttaka mu bukyamu.

Asoose kulaga butali bumativu n’engeri ensonga gyezettaka gyezikwatiddwamu.

Ayogedde ku ttaka lya BAT Valley erikayanirwa Damani Lyoti ne Herm Damani abaddukira mu kkooti nga bawakanya lease eyawebwa abagagga b’omu Kampala okuli Ephraim Ntaganda ne Ivan Byaruhanga.