Amawulire

Nabakooba awawabidde Joyce Bagala

Nabakooba awawabidde Joyce Bagala

Ivan Ssenabulya

March 21st, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Minisita w’amawulire n’okulungamya egwanga, Nalule Judith Nabakooba awaabidde akakiiko k’eby’okulonda n’omubaka omukyala omulonde ow’e Mityana owa NUP Joyce Bagala Ntwatwa, ngalumiriza nti waliwo okwekobaana okumubba akalalu.

Nabakooba yafuna obululu emitwalo 4 mu 8,078 n’awangulwa Joyce Bagala n’obululu emitwalo 6mu 4,305.

Mu mpaaba Nabakooba, gyatadde mu kooti okuyita mu bannamateeka be aba Okollo Oryem & Co Advocates abakulembeddwamu Alfred Okelo Oryem, ategezezza kkooti nti Bagala alina abakulira eby’okulonda abawerera 18 mu bifo ebyenjawulo beyeekobaana nabo okukyusa emiwendo, nga gyawukna nebyo ebyava mu bifo ebironderwamu ne vvulugu omulala.

Wabula Joyce Bagala akakasizza nti mugumu era nawera nti asubira obuwanguzi mu mu musango guno.