Amawulire

Mwongere ku Byokwerinda

Ivan Ssenabulya

March 29th, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses

File Photo:Stanley Ntagali nga ayogeera

Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda Stanley Ntagali asabye gavumenti, nebitongole byayo okwonera ku byokwerinda okusobola okumalawo okumalawo obutemu ku bantu abatalina musango.

Ssabalabirizi okukola okusaba kuno, abadde atuusa bubaka bwe obwamazukira mu maka ge Namirembe.

Wano asabye abakulisitaayo, okwewala ebikolwa byonna ebikyamu mu nnaku zino enkulu, ngobutemu nebiralala.

Ategezeza nti tewali alina buyinza kujjawo bulamu bwa muntu, kuba Katonda yabwesigaliza.

Takomye awo alabudde nabe funyiridde okubbanga ettaka lyabanaku  okukikomya.