Amawulire

Mwiru alayiziddwa

Ivan Ssenabulya

March 27th, 2018

No comments

Bya Kyeyune Moses

Omubaka wa Jinja East omugya, mu palamenti Paul Mwiru has akubye ebirayiro olwaleero luno.

Mwiru okuva mu kibiina kya Forum for Democratic Change yawangula owa NRM Nathan Igeme Nabeeta mu kulonda okwali okwokuddibwamu.

Mwiru ebbanga lyonna abaddenga ayita mu kalulu ka nvunula-bibya okugenda mu palamenti.

Omumyuka womukubiriza wa palamenti, Jacob Oulanyah yalayizza Mwiru.

Kyo ekibiina kya NRM kisubizza okukolera awamu ne Mwiru in.

Kino kirangiriddwa nampala wa gavumenti mu palaamenti Ruth Nankabirwa, mu lutuula lwaleero, oluvanyuma lwokulayiza Mwiru.

Ono wayogeredde bino, ngaba NRM baaali bassose kulangiriera nti bagenda kuddukira mu kooti okuwakanya ebyava mu kulonda.