Amawulire

Mwewale ebyobufuzi- abakozi ba gavumenti balabuddwa

Mwewale ebyobufuzi- abakozi ba gavumenti balabuddwa

Ali Mivule

July 8th, 2015

No comments

Ssentebbe wa disitulikiti ye Mukono Francis Lukooya Mukoome alabudde abakozi ba gavumenti bonna bewale ebyobufuzi  mu kalulu akajja.

Ategezezza nti abakozi ba gavumenti tebalina kwekubira ludda wabula balina kukola mirimu ate bawereze buli mukulembeze anaaba alondeddwa ku disitulikiti.

Bino abyogeredde ku kitebbe kya Disitulikiti ye Mukono, mu kwaniriza akulira abakozi  omuggya George Ntulume eyavudde mu disitulikiti ye Hoima ate Luke Lukorimo Lukuda abadde e Mukono natwalibwa e Hoima.

Lukooya w’ayogeredde bino nga kigambibwa nti abakozi ba gavumenti balina enkambi ezenjawulo zebawagira ky’avumiridde nti tebalina kulaga ludda.

Agenze maaso nalabula era abakozi ba gavumenti abatetaba mu nkunkaana za Bbalaza.

Eno abakulembeze basisinkana abantu babulijjo okubalaga ebikoleddwa nebikyalemye.

Ategezezza nti bangi tebazeetabamu ekiteeka emirimu gyabwe mu lusuubo, nti boolekedde emirimu okubayita mu myagaanya gyengalo.