Amawulire
Mwettanire Mobile Money Muby’ensimbi
Mwettanire Mobile Money Muby’ensimbi
Bya Moses Ndhaye
Emikutu gyeby’empuliziganya gigamba nti waliwo obwetaavu abantu okwongera okumanya obukulu bw’okutabuza ssente mu nkola eza Mobile Money, era bazettanire.
Kino bagamba nti kigenda kwongera obuwereza bwa ssente okubuna mu bantu ate kiyitimuse n’ebyenfuna.
Okusinziira ku Territory Manager ku Mtn-Uganda Ali Lubowa, abantu ssinga banettanira obuwereza bwa mobile money kigenda kwongera neku nnonno y’okutereka n’okwekulakulanya.
Agambye nti enkola ezenjawulo zireteddwa mubya Mobile Money abantu zebayinza okwettanira okutereka nemu kukola emirimu.
Bino abyogeredde ku mwalo gwe Gaba mu mugano oba promotion ya MoMoNyabo Promotion.
Mu mugano guno ebirabo awamu ebibalirirwamu obuwumbi 2 n’ekitundu byebigenda okuwangulwa okuli n’emmotoka kapyata.