Amawulire

Mwerinda amataba- Enkuba egoyezza abe Luweero

Ali Mivule

September 15th, 2014

No comments

Floods in South Sudan

Gavumenti erabudde ng’amataba bwegakyazingako eggwanga olw’enkuba ekyafudemba.

Minisita omubeezi owa minisitule y’ebigwa tebiraze n’ebibamba Musa Ecweru agamba yyo enkuba ekyatonya okutuusiza ddala mu December.

Bino minisita yabyogedde awaayo obuyambi eri abantu abakoseddwa amataba ku kyaalo Tajar village mu disitulikiti ye Bukedia.
Eno amayumba, amasomero n’amalwaliro agamu gabikiddwa amazzi nga era abayizi banji bali waka bakuba misota nga tebagenda ku masomero.

Ate bbo abalimi mu disistulikiti ye Luweero bakaaba twawa nga ntulege oluvanyuma lw’enkuba okusaanyawo emisiri gy’emmwanyi n’ensuku ebiwezaako yiika nga 12.

Zzo ennyumba ezisoba mu 5 ziri ku ttaka naddala ku miruka okuli Mazzi ne Nabinaka mu gombolola ye Kamira.

Ssentebe wa LCIII Livingstone Kategaya agamba omuyaga ogwamaanyi gwakunse okumala kumpi eddakiika nga 45 nga era ennyumba ezisinga tezaasigazza busolya.