Amawulire

MV Ssese bajitudde kudabirizibwa

MV Ssese bajitudde kudabirizibwa

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekidyeri kya MV Ssese, ekibadde kisabaza abantu nebyabwe, okuva ku kiznga kye Bugala e Kalangala kiyimirizza emirimu gyakyo.kitegezeddwa nti kigenda kudabirizbwa e Mwanza mu gwanga lya Tanzania okumala wiiki 5.

Akulira emirimu ku Kalangala Infrastructure Services, kampuni eddukanya emirimu gyekidyeri kino nga ye John Opondo agambye nti kyabuwaze okudabiriza ekidyeri kino okwewala okukwama.Opondo wabula agambye nti ekidyeri kya MV Pearl kigenda kujira nga kisabaza abantu okuva e Bugoma okudda e Bukakata.MV Ssese ebadde esabaza abantu 120 nemmotoka eziri mu 20 mu lugendo olumu