Amawulire

Muyambe ku bemukulembera- kabaka

Ali Mivule

January 28th, 2014

No comments

Kabaka vists day two

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri akunze abakulembeze ku mitendera egitali gimu okuyiiya engeri y’okulongosaamu ebirime by’abantu

Ng’ayogerako eri abantu be Busaana ng’alambula essaza lye olunaku olw’okubiri, ssabasajja agambye nti abalimi mu kaseera kano bafuna kitono kubanga eby’amaguzi byaabwe ssi birongoofu

Ssabasajja era agambye nti n’abakulembeze bano benyini balina okukolagana okuyambako abantu okusitula embeera zaabwe

Yye Kamala byonna Charles Peter Mayiga ategezezza nga Buganda bw’emaze okuyisa amateeka nga buli ssaza lirina okubeera n’olusuku n’omusiri gw’emmwaanyi

Kamala byonna agambye nti ebinaavaamu byonna birina okwanjibwa eri omuwanika w’obuganda