Amawulire

Muyambe abakyala mu bulimi

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

NAADS

Gavumenti esabiddwa okukola ennyo okukyuusa ku mbeera z’abakyala

Ab’ekibiina ekigatta abakyala abasuubuzi, bagamba nti abakyala bangi bakyasanga obuzibu bungi mu kwewola ensimbi okwetandikirawo emirimu ekibalemesezza okwekulakulanya

Akulira olukiiko olufuga ekibiina kino Hope Jemimah Kasimbazi agambye nti gavumenti yandibadde esalawo nti ensimbi eziweza ebitundu 50 ku kikumi eza NAADS ziweebwe bakyala

Abakyala bano banjizza enteekateeka zaabwe ez’omwezi guno nga guno guba gwakutumbula bakyala

bbo nno abalimi balina okusoma ennyo ebikwata ku bulimi okusoboka okwongera okuyiga

Minisita  omubeezi akola ku byobulimi Bright Rwamirama agamba nti abanonyereza buli lunaku bazuula akapya ku nnima ezifuna kale nga baba balina okubimanya

Rwamirama agambye nti abantu basobola okumanya engeri y’okukwasaganyaamu enkyuukakyuuka mu budde