Amawulire

Muve ku ttaka lya Buganda

Ali Mivule

August 15th, 2014

No comments

Kyewalabye Male

Akakiiko  ka Buganda akakola ku by’ettaka kalabudde abantu abesomye okwesenza n’okutunda ettaka ly’obwakabaka.

Akulira akakiiko kano , Kyewalabye  okulabula kuno akukoledde mu kuggulawo ofiisi z’akakiiko kano ku ssaza mu disitulikiti ye Mukono era nategeeza nga obwakabaka bwebutajja kulonzalonza kugoba Muntu yenna eyesenza ku ttaka lino mu bukyamu.

Okulabula kuno wekujidde nga abakulira eby’ettaka mu disitulikiti ye Masaka bali mu katuu lwakutunda bibangirizi, ettaka ly’obutale wamu n’eryamasomero.

Yye omwami wa ssabasajja mu ssaza lye Buddu  Vincent Mayiga asabye aba  Buganda land Board okwanguya enteekateeka y’okupunta ettaka ly’obwakabaka mu kitundu kino okwewala okubibwa.