Amawulire

Mutunde emigabo gyemwagula mu UMEME- abakozi batabuse

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

UMEME new

Ekibiina ekitaba abakozi ekya central organization of free trade unions  kikaladde nga kakano kyagala ekitavvu ky’abakozi NSSF  kitunde emigabo gyona gyekyagula mu kkitongole kya UMEME awataali lukussa

Akuklira ekkibiina kino Peninah Tikamwesiga agambye nti amakubo agaayitwamu okuggula emigabo gino nga tebeebuzizza kubakozi makyamu, kale nga buli ekyagenda mu maaso kisaana kikome kati

Kakati ono takomye awo wabula ayagala n’akulira olukiiko lwa NSSF olwokuntiko Ivan Kyayonka alekuklire bunambiro , kuba yalemwa emirinumogye

Kinajukirwa nti ensonga okutabuka kyaddirira ekitongole kya NSSF okugula emigabo mu UMEME ggya buwumbi 34 , nga kakano balina emigab0 egiwereza dala 14.3%.