Amawulire
Mutukize enkola ya ggwanga mujje
Bya Shamim Nateebwa, Minisita w’ettaka obulimi, obutonde bw’ensi, n’obwegasi, Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, alaze obwennyamivu olw’ettemu erisusse mu ggwanga, naasaba abantu berwaneko nga bayita mu nkola ya ggwanga mujje okusobola okukendeeza obumenyi bw’amateeka.
Bwabadde abatikkula kulwa Katikkiro, Owek Mariam ayagala obwakabaka buzzeewo ekitongole kya Kabaka ekikessi ekyaliwo edda, Ssaabasajja mweyayitiranga okumanya embeera nga bweri mu bantube.
Asabye abaami b’amagombolola okubiriza abantu obutamalaawo butonde bwensi baddeyo ku nnono zaabwe kubanga buli kimu kyakolebwa nga kirina okubezaawo ensi yaffe mu mbeera gyetwetaaga.
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka okuva mu Gombolola ez’enjawulo ezikola essaza lye Kyaddondo ne Kyaggwe, bakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe nebagula satifikeeti za bukadde obuweredde ddala asatu mu busatu (33m).
Nga ojjeko amagombolola, n’amasomero nago gatambulidde wamu mu nteekateeka eno, nekuluno gazze mangi era gaguze satifikeeti eziwera.
Wonna awamu amagombolola galeese oluwalo lwa bukadde 33, 340,000.