Amawulire

Mutebile waakuzikibwa ku Bbalaza

Mutebile waakuzikibwa ku Bbalaza

Ivan Ssenabulya

January 24th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abadde gavana wa Banka ya Uganda enkulu Prof Emmanuel Tumusiime Mutebile waakuzikibwa ku Bbalaza wiiki ejja.

Kino kibikuddwa minisita wamawulire Dr Chris Baryomunsi ngagambye nti zezimu ku ntekateeka zokuziika.

Okusinziira ku Dr Baryomunsi, omubiri gwomugenzi gusubirwa okukomezebwawo mu gwanga ku lunnaku Lwokubiri olwenkya era olumbe lujja kukumibwa mu maka g’eKololo ku Lwokusattu.

Mutebile yafudde olunnaku lweggulo obudde bwebwabaddebusasaana, mu ddwaliro lya Nairobi Hospital, ku mulirwano mu gwanga lya Kenya ku myaka 72.

Palamenti ejja kubeera nolutuula olwenjawulo ku lunnaku Lwokuna, okukungubaga nokusiima emirimu gyakoleddeegwanga.

Okusabira omwoyo gwomugenzi okwegwanga awamu kujja kubreawo ku lunnaku Lwokutaano ku kisaawe e Kololo.

Oluvanyuma omubiri gwomugenzi gujja kutwalibwa ku butaka e Kabale nabo okumukungubagira.

Abantu abava mu kitundu kye Kabale bakungubagidde Mutebile, ngayambye bangi n’okuwagiranga emirimu gyekannisa.

Mungeri yeemu obubaka obwokukungubaga bukyajja okuva mu bantu abenjawulo, olwokufa kwa Prof Emmanuel Tumusiime Mutebile, abadde gavana wa Banka ya Uganda Enkulu.

Eyali Ssabaminisita wegwanga Dr Ruhakana Rugunda ngabadde mukwano gwa Mutebile okuva obuto agambye nti ngojeeko okumujukira olwokuwanirira ebyenfuna byegwanga, yali mukulembeze wabayizi mulungi e Makerere.

Rugunda agambye nti Mutebile abadde musajja mwesimbu, ngayogera amazima neeri gavumenti.

Yye munnabyanfuna Dr Fred Muhumuza agambye nti ajja kujukirwa olwokuwanirira ebyenfuna bya Uganda nokuzimba abavubuka, okubayigiriza emirimu.

Abamu ku boludda oluvuganya gavumenti bagamba nti Prof Mutebile abadde mukugu ddala mu nkola yemirimu gye.

Omubaka wa munisipaali ye Kira Ibrahim Ssemuju Nganda amusiimye wabula nagamba nti gavumenti yandibadde yamuleka dda nawummula, olwembeera y’obulamu bwe etabadde nnungi.

Prof Emmanuel Tumusiime Mutebile, kyategezeddwa nti abadde nebirwadde bya ssukaali.