Amawulire

Mutabani w’omuyimbi Juliana afudde

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Juliana son dies 2

 

Mutabani w’omuyimbi Juliana Kanyomozi afiiridde mu ddwaliro e Nairobi gyeyatwaalibwa nga biwala ttaka.

Keron Kabugo ow’emyaka 11 abadde atawanyizibwa obulwadde bw’ekiziyiro buyite Asthma era nga bwamutabukira ali ku ssomero.

Ng’ayita ku mukutu gwa Facebook, Juliana agambye nti Keron afudde ku ssaawa nnya n’eddakiika 25 oza Ssande .

Asanguddewo n’engambo nti omwana we yafa lwa mukaaga.

Keron ye mutabani wa Juliana yekka gw’alina mu bulamu.

Omulambo gw’omwana ono gusuubirwa olunaku lwaleero ng’olumbe lwabadde mu maka ga Juliana e Lungujja