Amawulire

Mutabani wa Juliana bamusabidde

Ali Mivule

July 25th, 2014

No comments

JUliana at son's funeral

Abayimbi , abakulu mu gavumenti, n’abantu abalala balaze omuyimbi Juliana Kanyomozi omukwano bwebeyiye mu bunji ku Kanisa All Saints e Nakasero okusabira mutabani we kati omugenzi Keron Raphael Kabugo.

Okusaba kutandise ku ssaawa 3 ez’okumakya nga era e kanisa ekubyeko bugule. Bwabadde ayogerako eri abakungubazi abazze okumunakuwalirako, Juliana ategezezza nga bweyagumye kubanga Katonda eyamuwa omwana ono era y’amututte.

Ategezezza nga bweyabadde anyiigidde Katonda okumutwalako omwanaw yekka gwalina, wabula oluvanyuma n’akitegeera nti eyamumuwa era y’amututte.

Keron yafiira mu ddwaliro lya Agakhan ku Ssande ewedde mu kibuga e Nairobi nga abasawo baategeeza nga bweyafa ekirwadde kya Astma.

Keron yazaalibwa nga 20th September 2002.